Amawulire

Omuntu omulala attiddwa mu nkayana z’ettaka e Kasanda

Omuntu omulala attiddwa mu nkayana z’ettaka e Kasanda

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abakulembeze ba disitulikiti ye Kassanda nga bakulembedwamu Ssentebe wa District Kasirye Zzimula, Omubaka wa Kassanda South Frank Kabuye Frank, DPC Hassan Amanya n’abalala batudde bukubirire okusarira awamu amagezi ku nsonga yokusindsikiriza abantu okuva ku ttaka.

Eno musiga nsimbi Abidi Alam aliko abantu abwerako basindikiriza okuva ku ttaka.

Olukiiko luno lwatudde bukubirire oluvanyuma lw’omuntu eyakubiddwa amasasi nafirawo mbulaga.

Ssentebe wa District ye Kassanda Kasirye Zzimula ategezezza nga bwalina ekiteeso kyagenda okuleeta mu lukiiko lwa disitulikiti okuyimiriza abantu okutunda ettaka mu kitundu kino.

Abatuuze abeetabye mu lukiiko batotodde ennaku gyebayitamu.