Amawulire

Omulogo agobeddwa ku kyaalo

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

withcraft one

Abatuuze mu tawuni kanso ye  Kijura mu disitulikiti ye Fort portal  bagobye omukazi ow’emyaka 25 ku kyaalo lwa bulogo.

Ono ataasiddwa poliisi ku batuuze ababadde baagala okumulesa emmere nga bamulanga kubaama nkola ya kalogo kalenzi.

Omukazi ono nga wanzaalo 3, abasajja ku kyaalo bamulumiriza okubaloga nebaggwamu amaanyi g’ekisajja nga n’abakyaala banatera kubanobako olw’obuteesobola.

Ono takomye ku basajja, n’abakyaala bamukaaba okubaloga nebadibira ku nzijja nga abafumbo bbo baziriddwa ba bbaabwe.

Akulira eby’okwerinda ku muluka gwe  Kaisagara , Boniface Biryomumisho ategezezza nga nakyaala ono olwawonye okugajambulwa nakiriza nga bwabadde abaloga abatuuze bano.

 

Yye Kansala w’omuluka guno Margret Agabire  agamba amaka manji gasatulukuse  lwaddogo lyamukyaala ono kubanga abasajja tebakyesobola mu nsonga z’ekisenge nga n’abakyaakla bwebatyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *