Amawulire

Omuliro gusanyizaawo ekibanda ky’embaawo

Omuliro gusanyizaawo ekibanda ky’embaawo

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Masaka etandise okunonyereza ku muliro ogukutte ekibanda kye mbaawo, negusanawo ebintu ebibalirirwamu obukadde nobukadde bwensimbi.

Omuliro guno gubadde ku kibanda kya Bata Cell ekisangibwa mu divison ye Katwe-Butego mu munisipaali ye Masaka.

Bananyini kibanda kino bagamba nti, omuliro gulabilka gubadde mwokerer.

Wabula omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave agambye nti okunonyereza kwabwe okusooka, kulga nti gwavudde ku masanyalaze.

Poliisi era egamba nti guno gubadde muliro gwa mulundi gwkusattu, mu bbanga eryemyezi 3 mu bitundu bino.