Amawulire

Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi

Ali Mivule

July 17th, 2013

No comments

fire guts house

Omuliro gukutte ekisulo ky’esomero essomero lya  St Joseph Senior Secondary School, e Villa Maria, mu district ye Kalungu negusanyawo bya bukadde.

 

Omuliro guno gwatandise ku sawa nga biri ezekiro nga abayizi bali mu bibiina basoma negusanyawo ebintu byabayizi abasoba mu 65,

Amyuka omukulu w’esomero lino  Denis Ssenyange ategezezza nga abayizi bana bwebadusiddwa mu dwaliro ly’e villa Maria nga bazirise olwokugezako okutaasa ebyaabwe mu muliro.

 

Agamba kirungi mpaawo yafiiridde mu mumuliro olwobangu obwakozeseddwa okuzikiza omuliro guno.

Akulira police yabazinya mooto mu maserengeta g’eggwanga  Moses Muhanguzi agamba ekyaviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka , naye bakyagenda maaso nokunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *