Amawulire

Omulamuzi Zeija emotokaze tezakubiddwa Masasi

Omulamuzi Zeija emotokaze tezakubiddwa Masasi

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Okunonyereza okwakafuluma ku bulumbaganyi obwatuuse ku motoka zákulira abalamuzi mu kkooti enkulu, Dr. Flavian Zeija ku lunaku olwomukaaga kulaze nti yabadde boomu enkolerere eyabwatuuse.

Okubwatuka kuno kwali kukyalo Kalendezi e Buwama mu disitulikiti yé Mpigi omulamuzi bweyali ajja e Kampala

Olunaku lweggulo ekitongole ekiramuzi kyafulumiza sitetimenti ngeraga nti oluseregendde lwemotoka zomulamuzi Dr. Zeija zakubiddwa amasasi wabula bino omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abisambaze.

Mu kwogerako ne bannamawulire Enanga, tiimu yabwe okuli eya balwanyisa obutujju, aba CMI, aba Forensics, neyabakessi batuuse mu kifo ebagudde ekatyabaga ne betegereza bulungi ebyabadewo era bazuula nti waliwo engeri ya boomu enkolerere eyasulibwa ku kyalo Kalandezi eyabwatuuse.

Ono agamba nti utewali bujjulizi bwonna nti waliwo abatemu abandiba nga bateze boomu nekigendererwa ekyokutta omulamuzi