Amawulire

Omulamuzi Kanyeihamba avudeyo kukyókwagala okugyawo Beyilo

Omulamuzi Kanyeihamba avudeyo kukyókwagala okugyawo Beyilo

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Eyaliko omulamuzi mu kkoti ensukulumu George William Kanyeihamba yegasse ku bavumirira ekya pulezidenti okwagala okugyawo beyilo eri abateberezebwa okuzza emisango gyannagomola

Omukulembeze weggwanga azeenga ayimbirira ekitongole ekiramuzi okutagaba beyilo eri abantu abali kumisango omuli egyobutemu, obutujju, basseduvuto n’abalala nga agamba nti kino kitataganya enkunganya yóbujjulizi.

Mu kwogerako nómukutu gwa mawulire ogwa NTV omulamuzi kanyeihamba agambye nti singa beyilo evaawo kuba kulinyirira ddembe lyabuntu kuba amateeka galaga nti ateberezebwa okuzza omusango asigala talina musango gwonna okutuusa nga gumusse muvvi.

Era agambye nti Uganda bwebaba yakugyawo okweyimirirwa erina okusooka okuva mundagano zonna zeyakola na mawanga amalala ku byamateeka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *