Amawulire

Omulamuzi Baguma yagenda okuwulira omusango kundagaano yémmwanyi

Omulamuzi Baguma yagenda okuwulira omusango kundagaano yémmwanyi

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2022

No comments

Bya Ruth Andearah,

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Emmanuel Baguma yawereddwa eddimu okuwuliriza omusango oguwakanya endagaano yemwanyi, eyakolebwa wakati wakati wa gavumenti ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited.

Omulamuzi Baguma ataddewo olunnaku lwanga 24 June 2022 okutandika okuwuliriza omusango guno.

Bannamateeka babiri Henry Byansi ne Micheal Aboneka bebaddukira mu kooti okuwakanya endagaano eno, balumiriza yakolebwa wakati mu kumenya amateeka era egenda kunyigiriza abalimi nabasigadde abali mu mulimu guno.

Endagaano eno yali yakolebwa mu kyama kigambibwa nga 10 February 2022 nga yatekebwako emikono minisita webyensimbi Matia Kasaija kulwa gavumenti ne Enrica Pinetti munnansi wa Italy kulwa kampuni.

Bagala kooti erangirire nti endagaano yali emeneya amateeka, teyaliimu bwenkanya era bagala esazibwemu.