Amawulire

Omulambo mu mwaala

Ali Mivule

March 20th, 2013

No comments

drainage

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze b’omu mayinja zooni ku kyualo Kitebi ekisangibwa mu divisoni y’e Lubaga, bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja.

Ono alabise nga muvubuka atemera mu gy’obukulu 24, omulambo gwe gubaddeko ebisago nga kirabika nti yakubiddwa n’oluvanyuma n’awalulwa nasuulibwa mu mufulejje.

Akulira poliisi y’e Katwe , Patrick Ismat agamba nti omuntu ono yandiba nga yagwiriddwako kiyiifiyiifu n’akubwa okutuusa lwe yatiddwa.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa