Amawulire

Omulambo gwo Oulanyah gutuuse mu ggwanga
Bya Juliet Nalwooga,
Omumyuka womuk weggwanga, Jessica Alupo asabye bannauganda okusigala nga bakakamu ate nga bali bumu ngeggwanga likungubagira omugenzi Jacob Oulanyah.
Bino abyogedde ayogerako ne bannamawulire amangu ddala nga yakakwasibwa omubiri gwomugenzi ku kisaawe e ntebbe.
Omulambo gwomugenzi eyali sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 Jacob Oulanyah, gutuuse mu ggwanga entuuntu lya leero gugidde mu nyonyi ya Ethiopian Airlines.
Abakungu ba gavt abenjawulo nga bakulebedwamu sipiika wa palamenti eyakalondebwa Anita Among, bebagwaniriza.
Mu balala ku baddeko omumyuka womuk weggwanga Jesca Alupo, eyaliko omumyuka womuk weggwanga Edward Sekandi, minisita owa guno na guli mu maka gomuk weggwanga Kasule Lumumba
Nábabaka ba palamenti betabye ku mukolo ogwokwaniriza omubiri gwomugenzi era bazze banekanekaye akabonero akokuwa omugenzi Oulanya ekitiibwa.
Oulanyah yassa ogwenkomerero nga March 20 ku ddwaliro lya University of Washington Medical Centre mu kibuga Seattle ekya America gyeyali addusibwa okufuna obujanjabi.
Okusinzira kunteekateeka omugenzi Oulanya wakugalamizibwa ku bigya bya bajjajjaabe mu disitulikiti ye Omoro kulwokutaano lwa ssabiiti ejja.