Amawulire

Omulambo gusangiddwa mu lugya lwa kampuni ya Madhivan

Omulambo gusangiddwa mu lugya lwa kampuni ya Madhivan

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi ye Jinja etandise okunonyereza ku nfa yomusajja, omulambo gwe ogusangiddwa mu Lugya lwa kampuni ya Madhavani Group.

Ono ebimukwatako tebinaterekeka, nga kisburwa nti abadde atemre amu myaka 32.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira James Mubi agambye nti omulambo guno gubaddeko ebiwundu ebinene ku mutwe.

Mubi agambye nti omulambo gujiddwayo negutwalibwa mu gwnika lyeddwaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa.

Poliisi era egamba nti okunonyereza kutandise.