Amawulire

omulalu omubbi bamunywezezza

Ali Mivule

April 12th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Omusajja  abadde yefuula omulalu nanyaga abantu mu bitundu by’e Makindye ebintu bimuddugalidde,Poliisi bwemutayizza n’emukwata.

Ono ategerekesse nga Steven Waliggo era olutuusiddwa ku poliisi y’e Katwe n’agezaako okwefuula zzolo nabo kye baakoze kwekumutwala kudwaliro eMulago bamwekebbejje era nga mukiseera kino akumibwa kunjegere.

Kitegerekesse nti abatuuze baludde nga beemulugunya ku Waliggo okubba ebintu byabwe kyokka olumugambako ng’abakwatira amayinja okubakuba.

Omusirikaale amuliko agamba  baagaanye okumuyingiza mu kaduukulu nga batya okukolerayo effujjo ne basalawo okumusibira ku nkondo wabweru era nga eno gyagyidwa naletebwa okwekebejjebwa nga tugezezaako nokwogera naye neyefuula atasobola kwogera .

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *