Amawulire
Omulala bamusudde ku kasasiro
Bya Malik Fahad
Poliisi ye Masaka eri ku muyiggo gwa maama kalittima eyagyemu olubuto olw’emyezi 5 omwana n’amusuula ku kasasiro.
Bino bibadde mu katawuni ke Kijjabwemi nga era omu ku batuuze Simon Ndyaguma agamba nabo kibabuuseko okusanga omwana ono kwekukubira poliisi essimu okukima omulambo.
Atwala poliisi ye Kyabakuza Denis Kanakulya ategezezza nti bagezezzaako okukozesa embwa enkonzi z’olusu okuzuula nakampaati w’omukazi ono wabula abantu bangi baabadde baayise dda mu kifo kino nebalemererwa okumugwa mu buufu.