Amawulire

Omulala Awabidde Banka Enkulu Olwe’nsimbi Zebaziika ne Ssemwanga

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Kooti enkulu mu Kampala ewadde ssabwlererza wa gavumenti ne Bank ya Uganda enkulu ennaku 15 zokka okutekayo okwewozaako kwabwe mu kooti eno mu buwandiike, ku musango ogubavunanibwa olwobulagajjavu bwebafuuka kyesirikidde abavubuka ba Rich Gang bwebamansa ensimbi mu ntaana jjolyabalamu mu kuziika omugagga Ivan Ssemwanga ekimenya amateeka.

Kino kidiridde Robert Senfuka,  okuddukira mu kooti ngayagala ebiragiro biyisibwe omulambo gwa Ssemwanga guzikulweyo okujjayo ensimbi zebamuziika nazo zikomezebwewo okukola.

Ono agamba kino kyali kimenya mateeka atenga kyakolebwa munegri yokutyoboola ennusu ye gwanga. Saako nensimbi endala zezasuula okwali Dola za America nesimbi za South Africa.

Omuwaabi ayise mu bannamateeka be aba Wameli and company advocates, okutwala ensonga zino mu kooti.

Ono ye Muntu owokubiri okuwabira Bank enkulu nga ne wiiki ewedde, wavaayo Abey Mgugu okuwabira abantu bebamu era ku nsonga yeemu.

Omulamuzi Stephen Musota yawereddwa omusango guno okugubeera mu mitambo songa ogwa Mgugu gugenda kuwulirwa mu maaso gomulamuzi Margret Oguli Oumo.