Amawulire

Omulabirizi alabudde abasawo obutatunda musaayi

Omulabirizi alabudde abasawo obutatunda musaayi

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana, ajjukiza abasawo abakola mu malwaliro obutagezaako kukemebwa okutunda omusaayi.

Agambye nti kino ssi kyabwenkanya, kubanga abaguwaayo baguweayo ku bwerere, era kyandivaako abantu okwenyiwa nebalekerawo okugugaba.

Bishop Joseph Antony Zziwa, okwogera bino abadde ajjukiza abakristu okugenda okugaba omusaayi olwaleero mu bitundu ebyenjawulo e Mityana, entekateeka eyawomedwamu omutwe obwakabaka bwa Buganda.

Entekateeka eno, egenda kumala ennaku 5 ssaza lye Ssingo.

Minista omubeezi owa gavument ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Joseph Kawuki asabye abantu okwettanira okugaba omusaayi mu wiiki eno yonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *