Amawulire

Omukuumi avunanibwa gwa bulagajavu

Omukuumi avunanibwa gwa bulagajavu

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Waliwo omukuumi mu kampuni ya G4s Uganda avunanibwa olwokulagajala ngali ku mulimu ekyavirako ababbi okuyingira ne bba weyali akuuma.

Siraje Lubulwa owe myaka 25 bwalabiseeko mu maaso gomulamuzi owe ddaala erisooka ku kkooti eya City hall Valerian Tuhimbise yegaanye emisango egimusomedwa nasindikibwa ku alimanda.

Oludda oluwaabi lugamba nti Lubulwa ne banne March 11th 2022 e Naguru mu Kampala balemererwa okuyimiriza ababbi abayingira we baali bakuuma ne babba ensimbi za yulo 7000 na kakadde kalamba akensimbi za wano ne bintu byomunyumba mu maka ga Vladimir Kanzimine

Ono wakudda mu kkooti nga April 14th okwongera okuwulira omusango gwe.