Amawulire
Omukuumi asse omusubuzi e Naalya
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza kungeri omukuumi wekitongole kyobwanannyini, gyakubyemu omusubuzi amasasi agamusse ku Quality supermarket e Naalya, mu munispaali ye Kiira.
Omumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesegyire agambye nti omugenzi ye Arnold Ainebyona nga ye nanyini Hickory Bar and Restaurant e Kololo, ngafiridde mu ddwaliro e Mulago bwabadde yakatusibwa.
Yye omukuumi Moses Anguria abadde akola nekitongole kya Saracen security services, nga wetwoegerera naye ali mu ddwaliro e Mulago afuna bujanjabi.
Ababiri bano kigambibwa nti bafuny obutakanya, omukuumi kwekukumutunuzaamu emmundu mu face namukuba essai, ekitakutte abatuuze naye okwagala okumumiza omusu.
Ono bamukube naye nabuuka n’ebisago.