Amawulire
Omukuumi akubye owa taxi essasi
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Bugiri eriko omukuumi wa kampuni eyobwnanayini gwegwalidde, olwokukuba omuntue sassi mu kugulu.
Omukwate ye Patrick Kirya nga mukozi ne New security company, nga kigambibwa nti yavudde mu mbeera nakuba Muzamil Kairugavu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye nti ono abadde akuuma ku ssundiro lyamafuta okulinana ekitebbe kya poliisi e Bugiri.
Ono okuva mu mbeera kyavudde ku mugoba wa taxi eyazze nakyukira ku mafuta wano, atenga amulabuliidde ebbanga wabula nagaana okukikomya.
Kati aguddwako omusango gwokulumya omuntu, wabula nalabula nabantu baabulijjo bakomye okukyokozaanga abakuumi.