Amawulire
Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alayiziddwa
Bya Prossy Kisakye
Omukulembeze w’eggwanga lya south Africa omugya Cyril Ramaphosa alayizidwa mu butongole.
Omukolo gubadde mu kisaakwe ky’eggwanga ekikulu mu kibuga Pretoria.
Ramaphosa alayizidwa ssabalamuzi wa south Africa magoeng.
Ono yasuubiziza okutondawo emirimu era ne yeyama okukola okusinzira kuki bannansi kye bagala.
Omukolo guno gwetabidwako abakulembeze okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo nga n’omukulembeze w’eggwanga Uganda Yoweri Kaguta Museveni talutumidwa mwana ne munywanyiwe ow’e Rwanda Paul Kagame abadeyo.
Ramaphosa walayiridde nga gweyadidde mu bigere Jacob zuma awerennemba n’emisango gy’obukenuzi.