Amawulire

Omukozi agambibwa okutta omwana atuuyanye

Ali Mivule

February 14th, 2014

No comments

Omukozi w’awaka agambibwa okutta omwana wa mukama we ow’myezi 2 olwaleero asimbiddwa mu kkooti.

Mercy Natukunda nga wa myaka 23 avunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga

Ono wabula takkiriziddwaako kubaako na ky’anyega lw’ensonga nti omusnago gw’aliko gwannaggomola

Kigambibwa nti nga 25 omwezi oguwedde, omukozi ono ng’asinziira mu maka ga bakama be e Kiwatule yatta omwana Caleb Kanyale

Natukunda kigambibwa okuba nti yasereera n’agwa wansi era teyaddamu

Asindikiddwa e Luzira okutuuka nga 21 omwezi ogw’okusatu