Amawulire

Omukazi yeewadde obutwa nómwanawe ne bafa

Omukazi yeewadde obutwa nómwanawe ne bafa

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2021

No comments

Bya Malik Fahad,

Entiisa ebutikidde abatuuze bé Kabundi ekisangibwa mu disitulikiti eye Sembabule maama bweyewadde obutwa nomwanawe ne bafa lwa mwamiwe kumusuulawo.

Angel Nanyonjo, nga mutuuze ku Kabundi trading center e Matete afudde atuusibwa mu ddwaliro oluvanyuma lwokunywa obutwa nomwanawe omyezi 18

Abatuuze banyonyodde nti Nanyonjo nomwana basangibwa nga mu kazigo kabwe oluvanyuma lwokunywa eddagala erikaza omuddo.

Omugenzi abadde aludde nga alina obutakanya ne bba John Lwebuga, oluvanyuma lwokuwasa omukazi owokubiri

omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyamaserengeta Muhamad Nsubuga akakasiza enjege eno wabula navumirira ekikolwa ekikoleddwa omukyala ono