Amawulire

Omukazi yasse bwabuzizza ssente z’ekibiina kyobwegassi

Omukazi yasse bwabuzizza ssente z’ekibiina kyobwegassi

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Omukazi owemyaka 36 asazeewo okwetta oluvanyuma lwa ssente zekibiina, akakadde 1 nemitwalo 20 okwononekera mu mikono gye.

Ssente zino zaakibiina kyabwegassi, Nen Anyim group mu disitulikiti ye Apac.

Omugenzi ye Lillian Akite, ngabadde mutuuze ku kyalo Abuli mu muluka gwe Atana, wabula yesse oluvanyuma lwa muwala we omulwadde womutwe okuyuzayuza ssente zino.

Okusinziira ku Richard Ogwal, ssentebbe wekyalo kino, omugenzi yabadde omuwanika atereka ssente kulwekibiina.

Agambye nti omukyala ono yakomyewo ewaka okuva mu lugendo, nga ssente, omwana we omwemyaka 13 yaziyuzizza zisigadde bupapula.

Okusinziira ku mudumizi wa poliisi mu disitulikiti ye Apac Henry Mpirwe, ssente abaddenga azitereka mu nnyumba wansi w’omufaliso.