Amawulire

Omukazi yabibbwaako omwana

Ali Mivule

March 19th, 2013

No comments

Mulago hospital

Eddwaliro lye Mulago lirebukaana na gwakubba mwana.

Gorret Kajuma nga wa myaka 34 yazaalira ku kiso ng’ennaku z’omwezi 04 omwezi gwa December omwaka 2012

Bamulongoosa bulongoosa kyokka nga omwana we nebamutegeeza nti yafa kyokka nebatamuwa mulambo.

Ekyewunyisa nti ate ebbaluwa eyamusiibula ng’eraga nti omwana we Mulamu

Akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Baterana Byarugaba akkiriza nti omukyala ono beebamuzaziisa kyokka nga yye alowooza nti wandi ba nga waliwo okutabika ebiwandiiko

Aduumira polisi mu kampala ne miriraano Andrew Feix Kaweesi awadde ab’eddwaliro linoennaku ssatu okuvaayo n’elipoota ennambulukufu ku buddo bw’omwana ono.