Amawulire

Omukazi wa Mobile Money atiddwa e Kabalore

Omukazi wa Mobile Money atiddwa e Kabalore

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Kabarole etandise okunonyereza kungeri omukozi ku Mobile Money, omukazi owemyaka 29 gyakubiddwamu amasasi agamusse.

Omugenzi ye Ryan Kaahwa ngabadde mutuuze ku kyalo Rwengoma mu North Division, mu kibuga Fort Portal.

Kigambibwa nti waliwo abasajja 2 abamutukiridde, ngomu agamba nti ayagala kujjayo akakadde 1 n’emitwalo 20.

Wabula olwamaze okutekamu ennamb ye ssimu, nebamukuba essasi mu kibegabega, ababadde okumpi nebadduka zambwa okuloopa ku poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwenzori, Vincent Twesigye akaksizza obutemu buno nategeeza nti okunonyereza kutandise.

Omulambo gutwlaiddwa mu ddwaliro lya Buhinga Regional Referral Hospital, okwekebejebwa