Amawulire

Omukazi n’omwana basse taata
Bya Magembe Sabiiti
Police mu district ye Kassanda eliko omukazi Florence Nabakooza gwekute negalira lwa kwekobaana ne mutabani we natta bbawe Sserunjoji Paul owemyaka 39 oluvanyuma lw’okufuna obutakanya maka.
Bino bibadde ku kyalo Kabugeza mu gombolola ye Kassanda mu district ye Kassanda era nga abatuuze mu kitundu kino balumirizza Nabakooza Florence okwekobaana ne mutabani we Edward Nsonyi okuba kitabwe emiggo egimuvirideko okufa nga entabwe eva ku bya bugagga maka.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Ochom Nobert ategezezza nga police bwetandiise okunonya Edward Nsonyi eyadduse ate nga Nabakooza agudwako omusango gw’okutta omuntu nga n’okunonyereza bwekugenda maaso.