Amawulire

Omukazi eyakuba omwana poliisi emukutte

Omukazi eyakuba omwana poliisi emukutte

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi ekutte omukazi abadde alabikira mu katambi, akasasanye gyebuvuddeko ngakuba omwana omuto nokumulinnyalinnya.

Omwogezi wekitongole kyaba mbega Charles Twine akakasizza okukwatibwa kwomukyala ono.

Poliisi mu kusooka yategezezza nti omukyala ono owemyaka 25 Patience Uwimana ayigibwa.

Kigambibwa nti baali bamukwatako nebamuggalira ku poliisi eye Kisoro ku misango gyobutemu wabula ate nebamuyibula.

Akatambi koono, katandika okusasaana wiiki ewedde, nga kigambibwa nti bino byali ku kyalo Buwuuma mu Kabuga ke Kyazanga mu distulikiti ye Lwengo.

Kati Twine, agambye nti omusango gwe bagenda kugutwala mu kitongole ekikola ku butabanguko mu maka, okugwekennenya.

Poliisi egamba nti mu katambi kano, baamuwulidde ngayogera Oluganda, ekibaletera okukiriza nti omusango yaguddiza mu Uganda.

Ebibalo okuva mu poliisi biraga nti abaana 1,500 bebatulugunyibwa buli mwaka.

Mu mwaka gwa 2014, yaaya wa waka Jolly Tumuhiirwe, naye yakwatibwa ku katambi mu bubba, nga naye alinnyalinnya omwana wa mukama we aka.

Ono bamusiba emyaka 4 mu kkomera.