Amawulire

Omukazi atuze abaana be 2 naye neyetuga

Omukazi atuze abaana be 2 naye neyetuga

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga enonyereza kungeri omukazi owemyaka 34 gyeyaseemu abaana be 2, oluvanyuma naye neyetuga.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto agambye nti omugenzi ye Sylivia Nakato nga yasoose kokya bintu byamu nnyumba olwobutakanya bwabadde nabwo ne bbaawe.

Bino byabadde ku kyalo Bwetyaba e Bukoloto mu Kayunga.

Ku baana beyatuze ku miguwa kwabaddeko owemyaka 2 Jemima Nanfuka ne Joanita Nakabuye owemyaka 7.

Ekyalo kyabutikiddwa entiisa, olwenjega eno, wabula abatuuze bagamba nti omukazi ono abaddenga anoba bwakomawo nga bagugulana ne bba, era azze yewera okukola akatiisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *