Amawulire

Abakazi basse abaana baabwe

Abakazi basse abaana baabwe

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad ne Ivan Ssenabulya

Entiisa ebutikidde abatuuze be Kifamba mu district ye Rakai omukazi owemyaka 25 bwakakanye ku mwana we namutta.

Bino bibadde ku kyalo Kiluli mu gombolola ye Kifamba e Rakai Eva Mukamugenyi bwasazesaze omwana we omulenzi owemyezi 6, ku nsonga ezitanaba kutegerekeka.

Omudumizi wa poliisi mu distrct ye Rakai Bernard Nuwamya agambye nti omukazi ono bagenda kumutwala mu ddwaliro, okumwekebejja okukkasa obanga omutwe gukola bulungi.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, wabula alabudde abantu ku kubeera nabantu abalwadde bemitwe.

Mungeri yeemu poliisi e Kabale etandise okukonyereza ku butemu, obwakoleddwa ku mwana omuwala omuwere agambibw anti maama we yamusudde mu kabuyonjo.

Marion Nshabenta mutuuze ku kyalo Makanga mu tawuni kanso ye Ryakarimira mu district ye Kabale.

Eno ababtuuze bawulidde omwananono abade owolunnaku olumu, ngakabira mu kabuyonjo, nebekolamu omulimu okumutraasa naye bamujjeeyo nga yafudde dda.

Kati omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Matte agambye nti bakutte maama ayambeko mu kunonyereza okukyagenda mu maaso.