Amawulire

Omukazi asudde omwana mu mugga

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

 Namaye

Poliisi e Mbarara ekutte omukyala asudde omwana we mu mugga

Omwana gw’asudde wa wiiki emu.

Akwatiddwa ategerekese nga Justice nalule omutuuze we Mbarara ng’omwana amusude mu mugga gwa Rwizi.

Nalule agambye nti omwana w’amusuulidde nga yafudde dda kyokka nga waliwo abamulumiriza nti yabagamba nti abadde tamanyi taata wa mwana.

Omwogezi wa poliisi e Mbarara Polly Namaye agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza ku musango guno

 

Mu ngeri yeemu Namaye agamba nti bakutte omukyala ategerekeseeko erya Namayanja lwakulagajjalira mukyala wa lubuto.

 

Namayanja kigambibwa nti omukyala ayogerwaako amuggalidde mu nju ng’ebisa bimuluma okutuusa lw’afudde

Namaye agamba nti omukyala ono bulijjo azaalira ku biso kyokka nga yabadde tasobola kutuuka mu ddwaliro ekyamuviiriddeko okufa