Amawulire

Omukazi asibye muto w’enkoba navunda emikono

Omukazi asibye muto w’enkoba navunda emikono

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi ye Kakungulu mu division ye Kawempe eriko omukazi gwekutte, Christine Nakagwa ow’emyak 25 oluvannyuma lw’okukakkana ku muto we ow’emyaka 9 n’amukaliga enkoba ku mikono okumala ennaku 3, ekyamuviriddeko okuvunda emikono.

Kino kyadiridde abatuuze okutemya ku poliisi eyasitukiddemu  n’emukunya ababuulire amayitire ga muto, wabula oluvanyuma yabategezezza nga bwali mu kitanda yebase.

Poliisi yawaliriziddwa okwekebejja omuzigo gwe, era nebagwa ku mwana ng’ali wansi w’ekitanda asibiddwa enkoba ku mikono.

Omukazi ono nakampaate abulidde poliisi nti obusungu bwe bwamuleetedde okukola ekyo, omwana ono aludde ng’amubba ssente, nga ku mulundi guno zeyabbye zaabadde za kusasula looni.

Kati poliisi emugalidde ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.