Amawulire

Omukazi abbye omwana ow’olunnaku olumu
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Jinja, ebakanye nomuyiggo, ku mukazi, agambibwa okubba omwana wa munne.
Omwana eyabbiddwa, abadde wa Zurah Abenakyo, omutuuze we Katende Triangle, mu Town Council ye Bugembe, ngabadde wa lunnaku lumu.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira, Dianah Nandaula, agambye nti omukazi eyabbye omwana, yefudde amuyambako, nga bakabasibula mu ddwaliwo, wabula nabulawo naye.
Ono yalagidde maama womwana, atuule ku boda boda endala, naye ku ndala ngamukwatiddeko omwana, ppaka kati tanaddamu kulabwako.
Poliisi, etehezezza, ngomuyiggo ku mukazi ono, bwegutandise.