Amawulire

Omukama wéTooro akubiriza abasajja okukulembera olutalo olwókulwanyisa Mukenenya

Omukama wéTooro akubiriza abasajja okukulembera olutalo olwókulwanyisa Mukenenya

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukama we Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru akubiriza abasajja bonna muggwanga okujumbiranga  okwekebeza obulwade bwa mukenenya kiyambeko mukawefube eggwanga gweriliko ow’okulwanyisa ekirwade kino wetunatukira mu mwaka 2030 nga kifuuse lufumo.

Oyo bino abyogedde aggalawo olukungana olwategekedde akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa mukenenya muggwanga aka Uganda aids commission oluyindidde  mu kampla okumala enakku 3 mukwefumitiriza kukirwade kino.

Omukama Oyo akalatidde abasajja bonna okugenda okwekebeza obulwade buno mwaweredde nobukakafu ngaye bweyamala dda okwekebeza ngamanyi ne bwayimiridde kyagambanti eno yemu kukola egenda okuyambako eggwanga okutuuka kubirubirirwa byayo

Ono  ayagala ne districts awasinga obulwade buno okuli Fortportal, Mbarara ne Masaka kawefube wokulwanyisa obulwade buno okutandikira mu districts zino bwatyo nasaba ebitongole byobwannakyewa okugenda ngabasomesa abantu beeyo kubutya obulwade buno bwebuyinza okwetangirwamu.