Amawulire

Omukago gwetaaga okutondawo East African Airline

Omukago gwetaaga okutondawo East African Airline

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omwagzi wa Africa omututumufu, era omutapusi wensonga zebyobufuzi Prof Patrick Lumumba, asabye nti kampuni ze nnyonyi mu mawanga ga East Africa zonna zigatibwe, okutondawo kampuni emu eyobuvanjuba bwa Africa.

Agambye nti kampuni okuli Kenya Airways, Air Tanzania, Uganda Airlines, Rwandair ne Air Burundi zetaaga okugatta okuvaamu, East African Airline.

Ono yayise ku twitter okuwa endowooza ye, ngagambyew nti ne gwanga lya South Sudan, lyetaaga okugatta ku ntekateeka eno, ngamawanga gasobola okutwala amagoba ga 10% ate 40% zitekebwe mu mirimu egigasa abantu awamu mu kitundu kino.

Wabula bino webijidde nga waliwo okwemulugunya kungeri amawanga agamu gyegazze gamenya endagaazno zobwegassi mu East African community.