Amawulire
Omukadde owe’myaka 92 bamugoba ku ttaka
Bya Ivan Ssenabulya
Namukadde owemyaka 92 ali mu kooti, ento e Mukono alumiriza ab’oluganda lwe okumusindikiriza okuv ku ttaka.
Janet Nakawungu nga mutuuze ku kyalo Jjogo-Misindye mu division ayagala kooti emutase ku muwala we Margret Nakanyike owemyaka 63 ne muzukulu we Bashir Bwete owemyaka 30.
Nakawungu ategezezza kooti ng’ettaka lyebagal okumugobako bwelyamuweebwa Kitaawe Omugezi Bulasiyo Ddamba.
Kati omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya ategezezza ngobulamu bw’omukadde ono, obulamu bwebuli mu matiga.
Omulamuzi Tadeo Muyinda yali mu mitambo gyomusango guno, nga gugenda kuddamu okuwulira 20/7/19.