Amawulire

Omujulizi yegaanye sitetimeenti gyeyakola

Omujulizi yegaanye sitetimeenti gyeyakola

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Kooti enkulu e Mukono ewunikiridde, omujulizi, mu musango gweyali omuyizi mwavunanibwa okutta eyali muganzi we, bweyegaanye statement kennyini gyeyakola.

Mathew Kirabo nga yali asoma busawo mu Makerere University yagambibwa okutta eyali muganzi we Desire Mirembe bwebaali basoma.

Kigambibwa nti Kirabo yatta Mirembe nga 10/7/2015 oluvanyuma omulambo gwe nagusula mu bikajjo e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe.

Oludda oluwawabirwa lukomekereza obujjulizi bwalwo bweluleese abajjulizi 4, wabula omu Longino Kigambo 67, ategezezza nga bwataakola statement mpandiike ku poliisi.

Wabula oluvanyuma statement eleteddwa nakiriza nti kituufu yeyagikola, naye abadde yerabidde.

Oludda oluwaabi lwaleeta abajjulizi 14 nga lwakomekerezza obujjulizi bwalwo.

Wabula kinajjukirwa nti Kirabo yamalamu dda omusubi era kooti yamusaako dda ebibaluwa bankutumye.

Omulamuzi Henry Kaweesa omusango agwongezaayo okutukira ddala nga 4/3/22, abawabuzi ba kooti oba Court Assessors lwebanaawa okuwabula kwabwe.