Amawulire

Omujaasi bamwokyezza

Ali Mivule

April 23rd, 2013

No comments

soldier killed

Omujaasi wa UPDF atiddwa lwankaayana za mukazi.

Abantu abatanategeerekeka bakakanye ku  private Kabali Muzafalu, nebamukuba mizibu noluvanyuma nebamwookya ku kyaalo  Kasoozo village mu district ye Mityana yena nasigala vvu.

Kigambibwa abantu abookezza omujaasi ono bakulembeddwamu Andrew Byamukama abadde alumiriza omujaasi ono okumwaagalira omukyaala.

Aduumira police ye Mityana kintu Henry agamba Byamukama Azenga yeewerera kabala okumutta lwakumwagalira mukazi.

Police yakutte dda kabala nga omu kubateeberezebwa okwetaba mu kutta omujaasi ono , nga egamba yabadde omu ku bayokezza kabala omukyomo.

Kabali  abadde mu luwumula nga mulwadde abatuuze abamu bagamba tabadde nabuzibu namuntu yenna.

Omulambo gwomugenzi gutwakiddwa mu gwanika lyedwaliro lya gavt e Mityana nga okunoonyereza bwekukyagenda maaso.