Amawulire

Omujaasi asse omuntu, Abalala balabuddwa ku lyaanyi

Ali Mivule

December 10th, 2013

No comments

Katumba wamala

Amaggye g’eggwanga gali ku muyiggo gwa musajja waago akubye omuntu wa bulijjo amasasi n’oluvanyuma n’amalamu omusubi

Private Fred Keny asse omugoba wa piki  atannategerekeka mannya ku kyaalo Ilihili e Katakwo

Ayogerera ekibinja kya UPDF eky’okusatu, Jimmy Denis Olamala agamba nti obubbi bweyongedde mu nnaku zino ate nga oluusi bwetabwaamu abajaasi mu maggye g’eggwanga

Ono wabula agamba nti baayisizza amateeka amaggya eri abajaasi okulaba nti tebasiiwuuka mpisa

Mu ngeri yeemu ,

Bannamaggye abagaala okwegatta ku byobufuzi nga balekulidde balabuddwa ku kukozesa eryaanyi kutuukiriza ebigendererwa byaabwe

Okulabula kuno kukoleddwa munnamaggye gen Katumba Wamala ku mukolo gw’okutona ba ofiisa 114 ku kitebe ky’amaggye e Mbuya

Bannamaggye bana beebawumudde emirimu gyaabwe mu maggye nga kuno kuliko Maj. Gen Benon Biraro, Brig Bernard Rwehururu, Maj. Baker Kimeze ne Lt. Patrick Kasumba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *