Amawulire

Omufere wa Golodi bamuvunanye mu kooti y’amagye

Omufere wa Golodi bamuvunanye mu kooti y’amagye

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusubuzi womu Kampala Sam Buchanan eyakwatbwa wiiki ewedde ku, byokwetaba mu busubuzi bwa zaabu owebikwangala avunaniddwa, noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kigo.

Omuvunanwa nga mutuuze we Buziga mu divison ye Makindye yakwatibwa CMI okuva ku Wavamuno Raod e Munyonyo nga kigambibwa nti aliko $ emitwalo 5.

Oludda oluwaabi ku kooti yamagye nga lukulembeddwamu Maj. Samuel Maserejje lugamba nti ono nga 16 August 2019 e Buzinga-Makindye era baamusanga nebyokulwanyisa, okwali amasasi 18.

Wabula munamateeka womuvunanwa Frank Kanduho amugaanye okwanukula ku musango ogwokubiri, nti babadde tebagumanyi.

Ssentebbe wa kooti eno Lt. Gen Andrew Gutti kati omusango agwongezaayo okutukira ddala nga 3 Ssebutemba.