Amawulire

Omubaka Zaake bamujeemu obwesige kubwa kamisona

Omubaka Zaake bamujeemu obwesige kubwa kamisona

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake yajiddwamu obwesige ku kifo kya kamsona wa palamenti, olwokweyisa mungeri etagwanidde era ewebula ekitiibwa kya palamenti.

Bino bibaddewo mu lutuula olutudde akawungeezi akayise, ngekiteeso kino kireteddwa oluvanyuma lwokwanjula alipoota yakakiiko akakwasisa empisa era akabadde kanonyereza ku bigambibwa nti yayita ku mutimbagano okuvuma ‘nokuwemula amyuka sipiika Anita Among.

Omugatte ababaka 161 bebetabye mu kulonda nga 155 bawagidde okumujjamu obwesige, ababaka 4 nebakiwakanya ate ababaka 2 obululu bwabe bubadde bufu.

Bbo ababaka ab’oludda oluvuganya gavumenti bafulumye wabweru nebatetaba mu kulonda kuno, nga babadde bakulembeddwamu Mathius Mpuuga.

Wabula bino byonna byabadde bikontana nokuwabula okwakoleddwa alipoota yakakiiko akakubirizibwa omubaka Abdu Katuntu, eyabadde eragire nti omubaka Zaake yetonde.

Bbo ababaka abatono ku kakiiko kano nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owe Butambala Aisha Kabanda mu alipoota yaabwe babadde bawabudde nti waberewo okutabagana.

Wabula ekiteeso kireteddwa, amateeka negakolebwamu enongosereza, nebaleeta ekiteeso nebalonda nga bamujjamu obwesige mbagirawo.