Amawulire

Omubaka wakuwakanya amateeka ku balokole

Omubaka wakuwakanya amateeka ku balokole

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka omukyala owa district ye Buvuma, Jenifer Egunnyu Nantume, ategezezza nga bwagenda okukunga ababaka, okuwkaanya ebbago, gavumenti lyeyagala okuleeta ku makanisa gabalokole.

Minisita omukwasisa wempisa nobuntubulamu Fr. Simon Lukodo, yavaayo nalaga entekateeka, za gavumenti zino.

Mu lukungaana, lwabasumba abablokole olutudde e Mukono, omubaka Natume agambye nti naye bino akyabiwulira mu ngambo, nayenga baakubiwakanya.

Ebimu ku bisanyizo, byabasumba kwekuba nobuyigirize, obwa degree.

Eno omusumba David Kiganda, agambye nti ssi kya bwenaknya, okubasaba obuyigirize, obusukka nobwabakulembeze.

Ono awakanya ekyokubasaba degree, ate abesimbawo ku bukulembeze okuli, omukulembeze we gwanga nababaka, ba alamenti nebasabibwa S6.