Amawulire

Omubaka wa Nansana Municipaali atonedde abébuwambo Ambyulensi

Omubaka wa Nansana Municipaali atonedde abébuwambo Ambyulensi

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Omubaka akikirira Nansana Municipality mu lukiiko lwegwanga olukulu Wakayima Musoke Nsereko Hangiton mwenyamivu okulaba nga government ekyalemedwa okutereeza ebyobulamu abantu okusobola okubisanyukiramu.

Wakayima okwogera bino abadde kuddwaliro lya Buwambo Health Center IV bwabadde abakwasa ambulance kapyata gyabagulidde okuyambako mu kutambuza abalwadde nagamba nti obulwadde bwa covid bwayambula government okulaga nti teyetegese ngobulwadde bubaluseewo.

Mayor wa Division ye Gombe omusangibwa eddwaliro lino Ronald Kasirivu Kabembula asabye omubaka okutunulira enyo enkola ya local government kubanga emirimu egisinga giri wansi wabula nalabula abakulembeze abagala okuzanyira mu byobulamu.

Dr Joseph Kalule nga badewo kulwa kulira eddwaliro lya Buwambo health center IV yebazizanyo omubaka wakayima okubafunira ambulance nategeeza nga bwebabadde bafuna obuzibu bwentambula ngawaliwo ekiggudewo.