Amawulire

Omubaka Ssemujju anenyeza Gavt okudibaga enfa yo Oulanyah

Omubaka Ssemujju anenyeza Gavt okudibaga enfa yo Oulanyah

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omubaka wa Kira Municipaali, Ibrahim Ssemujju Nganda, anenyeza gavumenti olwokudibaga enfa Oulanyah, nga yebuuza lwaki abakungu ba gavt baasirika busirisi nga waliwo ekibinja kya bannauganda abeekalakaasa nga bawakanya ekyomugenzi okutwalibwa emitala wa mayanja ku buwanana bwensimbi okufuna obujanjambi obulungi nga mu ggwanga embeera ye byobulamu tefiibwako.

Ssemujju bino abyogedde awa obubakabwe ku byamanyi ku mugenzi ku palamenti mu lutuula elwenjawulo.

Ono anenyeza gavt olwobutatangaza bannauganda lwaki omugenzi Oulanya abadde alina okuweebwa amaziika agekitiibwa ku buwanana bwensimbi.

Ssemujju obuvuyo obweyolese mu kufa kwomugenzi akitadde ku kya Pulezidenti Museveni okulonda abakulembeze abekibogwe.