Amawulire
Omubaka Paul Mwiru addukidde mu Kkooti
Bya Abubaker Kirunda,
Omubaka we kibuga kya Jinja East mu palamenti Paul Mwiru addukidde mu kkooti nga ayagala alangirirwe ngomuwanguzi mu kulonda okwaliwo nga January 14 parliamentary election.
Nathan Igeme Nabeta, eyagira ku kaada ya NRM yeyalangirirwa ngomuwanguzi mu kulonda kuno wabula enkambi ya Mwiru egamba nti babanyagako obuwanguzi bwabwe
Mu kwemulugunya kwatute mu kkooti enkulu e Jinja, Mwiru agamba nti waliwo okukyangakyanga ebyava mu kulonda
Mwiru agamba nti yafuna obululu 5,662 ate Nabeta nafuna obululu 5,335 kyokka nalangirirwa ngomuwanguzi