Amawulire

Omubaka Nandutu awakanyiza ebyókugwa mu Kinaabiro

Omubaka Nandutu awakanyiza ebyókugwa mu Kinaabiro

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omukubiriza wa palamenti Anitah Among wamu nababaka baniriza minisita omubeezi owensonga ze Karamoja, Agnes Nandutu okuva mu bulwadde.

Nandutu nga ye mubaka omukyala owe Bududa mu ssabiiti ewedde amawulire gasasaana ku mitimbagano nga bwavudde mu bulamu bwensi eno oluvanyuma lwokugwa mu kinaabiro nabeera mu mbeera embi.

Wabula amawulire gano yavaayo nagawakanya.

Nandutu leero akaomyewo mu palamenti era abuulidde ababaka nti yafunamu kamunguluze bweyagenda okwekebejebwa bamutegeeza nti waliwo akasaayi akekutte mu mawugwege najanjabibwa era kati ali bulungi.