Amawulire

Omubaka Musinguzi anenyezza Museveni okuwuliriza Musenero yekka

Omubaka Musinguzi anenyezza Museveni okuwuliriza Musenero yekka

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Ntungamo Yona Musinguzi asabye omukulembeze wegwanga, nabo oubawuliriza obutawuliriza omuwabuzi we yekka ku birwadde ebikambwe, Dr Monica Musenero.

Omubaka ono ku lunnaku Lwokubiri, aliko ebiwandiiko byeyayanjulidde palamenti nga byoleka engeri Musenero eranga ye minisita owa sayansi ne tekinologiya, gyeyabulankanyamu obuwumbi obuli mu 30, ssente ezaali ezokuvumbula eddagala eryaffe erigema ssenyiga omukambwe.

Kino kyekyabagula amyuka Sipiik wa palamenti Anita Among okutondawo akakiiko akebjawulo akakulemberwa omubaka wa Ibanda North Xavier Kyooma okunonyereza ku Musenero.

Kati bwabadde ayogerako naffe, omubaka Musinguzi asabye omukulembeze wegwanga nabo okubawuliriza kubanga bakola mulimu gwabwe ogwokulondoola.

Akwungeezi keggulo, omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yayambalidde abantu beyagambye nti balumbagana bannasayansi.

Yabadde ku mikolo gyolunnaku lwa scenince olwa World Science Day e Kololo, nga Museveni yalayidde yalayidde okulwana okukuuka ejjembe kulwa Musenero.