Amawulire

Omubaka Kinaalwa alaze okutya olw’enkayana z’amaka ez’eyongedde

Omubaka Kinaalwa alaze okutya olw’enkayana z’amaka ez’eyongedde

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Lugazi Stephen Sserubula asabye abantu buli lwebaweebwa omukisa gw’obukulembeze okuwereza abantu era baleke omukululo.

Sserubula bino aby’ogeredde ku kaniisa ya St. Peter’s Town Church mu kibuga Lugazi bwabadde yetabye ku mukolo gw’okusibuula abadde ssabadinkoni we Lugazi, Can. George William Kityo.

Sserubula asinzidde era alaze okutya olw’obutabanguko obususe mu maka, ng’agambye nti emisango gy’abasajja okutundira abakazi n’abaana mu nnyumba gisusse.

Can George William Kityo yebazizza abamuyambyeko mu buwereza, ebbanga lyamaze mu kitundu kino.