Amawulire

Omubaka Kayemba Solo awakanyiza okusenza bannansi ba Afghanstan e Namboole

Omubaka Kayemba Solo awakanyiza okusenza bannansi ba Afghanstan e Namboole

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita ow’ekisikirize owebyemizannyo Geoffrey Kayemba Ssolo awakanyiza ekiteeso kya gavt ekyokukuumira ababundabunda okuva mu ggwanga lya afghanstan mu kisaawe kye Namboole singa banaba batuuse kuno.

Kino kidiridde amawulire okufuluma nga galaga nga gavt bwerina entekateeka eyokufuula ekisaawe kino okuba enkambi ya babundabunda singa afghanstan batuuka mu ggwanga.

Wabula bwabadde ayogerako eri ababaka akawungeezi ka leero omubaka Kayemba Solo, agambye nti kino tekisoboka kuba Namboole kye kisaawe kye ggwanga ekikulu kyerina kyokka ate nga kinatera okukozesebwa mu kwetegekera empaka ezokusunulamu abanetaba mu mpaka za world cup

Wabula amyuka sipiika Anita Among ono amugumiza nti ezongambo kuba ne kisaawe kyenyini kikyadabirizibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *