Amawulire

Omubaka Katuntu ne  Muwuma bawangudde emisango gyébyókulonda

Omubaka Katuntu ne Muwuma bawangudde emisango gyébyókulonda

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omubaka wa Bugweri county mu palamenti Abdu Katuntu awangudde omusango gwe byekulonda ogubadde guwakanya obuwanguzibwe mu kulonda okuwedde.

Julius Galinsonga,munnamateeka wómu kampala, yeyatwala Katuntu mu kkooti.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja, Suzan Aenyo munsalaye agambye nti Galinsonga aremereddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti waliwo okutiisatiisa abalonzi

Ono era ategezeza nti obujjulizi obuleeteddwa mu kkooti tebumala kuwakanya buwanguzi bwómubaka Katuntu.

Ate omubaka wa Kigulu south Milton Muwuma naye awangudde omusango gwe byokulonda

Munne bwebavuganya Ronald Kajelero yeyaddukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwe bweyategeeza nti Muwuma talina mpapula za buyigirize ezimukkkiriza okuba mu palamenti.

Ono yategeeza kkooti nti erinnya Muwuma lyeyakozesa mu register ya kakiiko ke byokulonda siryeriri ku mpapulaze ezobuyigirize.

Wabula omusango gugobeddwa lwa butaba na bujjulizi bumala kuwagira musango guno.