Amawulire

Omubaka Bagala yekubidde enduulu mu kkooti

Omubaka Bagala yekubidde enduulu mu kkooti

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omubaka omukyala owa disitulikiti yé Mityana Joyce Bagala awadde ensonga 8 zayagala kkooti ejjulirwamu esinzire okusazaamu ensala yómulamuzi Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu mweyamulagira okwamuka palamenti.

Ngennaku zomwezi 21st oct 2021 omulamuzi Baguma atuula mu kkoti enkulu e Mubende yalagira Bagala okuva mu palamenti bweyalumiriza nti okulondebwakwe kwalimu okubba obululu.

Kino kyadirira munne bwebavuganya mu kalulu kómubaka wa palamenti akaaliwo nga 14th gatonya Minisita wébyettaka Judith Nabakooba yaddukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Bagala ng’alumiriza nti waliwo obutagoberera biragiro bya kakiiko ke byokulonda.

Wabula Bagala teyakkiriziganya nansala yómulamuzi era addukidde mu kkooti ejjulirwamu nga ayagala ensala yomulamuzi Baguma esatululwe olwensonga zalambise.

Mu kulonda okuwedde akakiiko ke byokulonda kalangirira Joyce Bagala ngomuwanguzi ku kifo kyomubka omukyala owa Mityana nóbululu 64305 ate Nabakooba nafuna obululu 48,078.