Amawulire
Omubaka awakanyizza emyezi 6 egy’obwa nakawere
Bya Ndaye Moses
Omubaka we ssaza lya Bubulo West mu district ye Manafwa Rose Mutonyi awakanyizza ekiteeso kyebibiina byobwnakaywa abalwnairira eddembe lyabakayala, nti ba maama abakazaala bawebwenga oluwumula lwa myezi 6, nga tebanadda ku mirimu.
Kino agambye nti tekiibe kirungi, nga kyandikanga abakozesa okuwa abakyala emirimu.
Bwabadde ayogerera mu kukubaganya ebirowoozo okubadde kukwata kungeri yokutumbulamu abawala mu byenfuna, omubaka Mutonyi agambye nti emyezi ejibaweebwa gimala.
Alabudde nti nebimu byebasaba birabika tebisoboka okusinziira ku mbeera eriwo.