Amawulire

Omubaka Atiku yeralikiriddeko abayizi abali mu byémizannyo

Omubaka Atiku yeralikiriddeko abayizi abali mu byémizannyo

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye ,

Omubaka wa Ayivu county mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Bernard Atiku, asabye palamenti okuyingira munsonga za bayizi abasambi bómupiira abali mu mwaka gwabwe ogusembayo abolekedde obutakola bibuuzo byabwe ebyakamalirizo.

Kino kidiridde abazanyi ba tiimu ye ggwanga eya bali wansi wemyaka 17 aba Uganda cubs okuyitibwa okugenda mu kutendekebwa mu kwetegekera empaka za AFCON U-17 songa ekitongole kya UNEB kyafulumiza time table abayizi bonna mu ggwanga we balina okukolera ebigezo byabwe ebyakamlirizo.

Atiku abagamba nti abaana bano balemererwa okutuula ebigezo byabwe ebisembayo kuba kubagyako ddembe lyabwe eryokusoma nasaba minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza aveeyo atangaze eggwanga

Atiku nga ye ssentebe wa kakiiko ka palamenti akakola ku ddembe lya baana, agamba nti yadde nga ebyemizannyo kikulu naye ate ne byenjigiriza tebisanye kubuusibwa maaso kuba bye bisalawo ku biseera byabwe eby’omumaaso.